Akalulu k’okulonda ba ssentebe b’ebyalo kubadde kwa bunkenke mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, era nga police n’amagye mu bitundu ebimu ewaliriziddwa okukuba amasasi mu bbanga okugumbulula abawagazi bábesimbyewo.
Ebitundu ebirala abalonzi bakubiddwa embooko, awamu okulonda kuyiise.
Akalulu kabadde kakusiimba mu mugongo, kakubiddwa nga 28 July,2026.

Abewandiisa tebasomeddwa ku nkalala
Ebitundu ebiwerako naddala eby’ebibuga ebirimu abantu abanti, abatuuze bangi tebalonze wadde nga babadde n’endagamuntu saako okuba nga bewandiisa naye tebalabikidde ku nkalala z’abalonzi ezisomeddwa.
Abatuuze bemulugunyizza nti abesimbyewo abamu baakozesezza olukujjukujju nebakubisa enkalala ez’enjawulo, olwo eziriko abawagizi babwe neziweebwa omukisa okusomebwa, abalala nebalekebwa ebweru.
Embeera eno erabiddwako ku kyalo Nakinyuguzi Lower ekisangibwa mu Muluka gwa Salaama mu Division ya Makindye division, gyebayiye okulonda, ng’abawagizi ba Byamukama Geoffrey abadde yesimbyewo bwe balumiriza nti abawagizi ba Nalumoso Rashid babadde balina obukonge bwebawa abantu abatalina kulonda nékigendererwa ekyókubba obululu.
Akulembeddemu okulondesa Wamboka Ivan Shimaanya agezezzaako okubannyonnyola naye ng’ayiwa nsaano ku mazzi, era ekiddiridde police kubaweweenyula mbooko embeera nedda mu nteeko.
Embeera yeemu y’ebadde ne ku Kyalo Nakabugo mu Wakiso Subcounty, abatuuze abaakedde okugenda okulonda bwebakonkomalidde wabweru w’ekikomera ewabadde okulonda, era nga babadde balumiriza abadde asoma amannya g’abalonzi okubawuddiisa n’abeera ng’amanya g’asoma gaddamu, so ng’abawera abewandiisa tabasoma.
Bwezibadde zikunukkiriza okuwera essaawa mukaaga, kwekulangirira nti ababadde basomeddwa bokka bebaba abalonda, ekitabudde ababadde basigadde ebweru nebatandika okuwanvuya amaloboozi, nga bagamba nti ababadde munda babadde batono nnyo.
Kigambibwa abamu abawangudde sibebalangiriddwa ku buwanguzi
Waliwo abamu ku ba ssentebe abemulugunyizza nti engeri akalulu gyekabadde ak’okusiimba mu mugongo, kibadde kyangu okulaba okubadde abantu abangi nga besigama ku buwanvu n’obumpi bw’ennyiriri, wabula gyebiggweredde nga balangiriddemu balala.
Waliwo abafudde
Kamuli
Ku kyalo Buwagi e Kamuli akalulu kabalese mu kiyongobero, omukyala bwagudde naazirika naayitirayo tazze ngulu, oluvannyuma lwa bba okuwangulwa mu kalulu.
Kyotera
Omuntu omu afiiridde mu bbinu ly’okuyisa ebivvulu ku kyalo Lunyinya mu district ye Kyotera.
Jinja
Abalonzi mu Town Council ye Buwenge district ye Jinja baguddemu entiisa, banaabwe babiri mu Kabi Zone e Buwenge, bakubiddwa amasasi nebafa.
Abagenzi kwekuli Kalule Fred afiriddewo ne Ikaani John akutuse nga yakatuusibwa mu ddwaliro e Buwenge.
RDC we Jinja Haj Ahmed Kateregga Musaazi agambye nti abattiddwa bebamu kubabadde bakola efujjo n’okugotaanya okulonda, nga kigambibwa nti babadde bagezaako okuggya emmundu ku basirikale.
Asabye abavubuka okwewalanga okukozesebwa banabyabufuzi, abenoonyeza ebyabwe.
Abatuuze bakyomedde police olwokukozesa eryaanyi erisukkiridde netta banaabwe.
Batuuse n’okuggala oluguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli, nga booleka bwebatali bamativu ne nkola ya police ey’okukozesa eryaanyi erisukkiridde.

Obunkenke mu balondesa
Bukomansimbi
Wabadewo obunkenke obwamaanyi mukabuga ke Kawoko mu gombolola ye Butenga mu district ye Bukomansimbi, abalonzi okuva ku kyalo Gayaza A bwebalumbye akaduuka kaakuliddemu okulonda ku kyalo kyabwe, nga bagala okumusikayo addemu alangirire nti ebituufu ebivudde mu kalulu,okukakana nga yekukumye naakubira bakamaabe bebamutaasizza.
Abatuuze bazzeeyo akawungeezi nebalonda omulundi ogwokusatu.
Ebyalo ebimu tebalonze
Kalungu
Abatuuze ku kyalo Bubemba e Bukulula mu district y’eKalungu tebalonze ssentebe wabwe, kigambibwa nti entabwe evudde ku akuliddemu okulondesa ku kyalo kino adduse ne register.
Kkansala akiikirira omuluka gw’eLusasa ku lukiiko lw’eggombolola y’eBukulula Kivubuka Achilit, asabye akakiiko k’ebyokulonda okuddamu babategekere okulonda ku kyalo kino.
Luweero
Okulonda ba ssentebe be byaalo mu disitulikiti ye Luwero okwetoloola ebyaalo 624 kutandindise kikeerezi, wabula mu bitundu ebisinga kutambudde bulungi awatali kavuyo konna.
Ebyalo 2 okuli Ngogolo ne Katabona, tebasobodde kulonda olw’obutakaanya ku mannya agabadde mu alijesita.
Masaka
Okulonda akalulu ko bwa Sentebe mu bitundu ebitali bimu mu kibuga Masaka kugweredde mu mivuyo, Omukadde abalonzi okulonda nga tebali ku nkalala z’abalonzi nga nabalala tebalonze oluvanyuma lw’okusanga nga amannya gabwe tegali ku nkalala.
Mu LC ezimu nga eya Kirowooza eyo okulonda kuyiise era tewali alangiriddwa.
Ba ssentebe abamu abalondeddwa abasussa emyaka 20 nga bali mu kifo kye kimu
Emmanuel Ssemmambo ow’emyaka 80, yakakulembera ekyalo Nnabbaale mu gombolola ye Mmaanyi okumala emyaka egisoba mu 50, azzeemu naawangula akalulu.
Agambye nti yatandika eby’obukulembeze mu mwaka gwa 1970, era ng’asuubira nti kino ekisanja ekimuweereddwa kyagenda okukomako.
Mu Gombolola ye Kyanamukaaka mu district ye Masaka ,Peter Matovu mutaawe abadde ssentebe w’ekyalo ekyo okumala emyaka egisoba mu 20, azeemu naawangula obwa ssentebe ekasanja ekirala.
Mityana
Ku kyalo Kasimbi mu Busimbi mu district ye Mityana, Ssakosi Emmanuel yafuna akabenje era abadde tasobola kuyimirira. Wabula abalonzi bamwaliddewo omufaliso olwo nebalyoka bamusimbako ng’abalaba era akalulu akawangudde.

Enseko mu kulonda nazo zibaddemu
Eyakwatidde ekibiina ki NRM bendera mu kulonda ku kyalo Nabbaale mu district ye Mityana essizza abalonzi enseko, bwasazeewo okudduka neyegatta ku lunyiriri lwa munne bwebabadde bavuganya, oluvannyuma lw’okukizuula nti abadde ayimiridde bwannamunigina nga talina muntu yenna abadde amwesimbyeko.#












