Muzzukulu wa Nnamwama era munna Kyaddondo Namale Keisha awangudde obwa Nnalulungi w’ebyobulambuzi mu Buganda 2024.
Empaka zino ziyindidde ku Hotel Africana mu Kampala, mu kiro ekikeesezza olwa 01 June,2024.
Minister w’ekikula ky’abantu ne ofiisi ya Nnabagereka Owek Cotilda Nakate ku lwa Nnaabagereka Sylivia Nagginda asiimye abateesiteesi olw’okusoosowaza eby’obuwangwa n’ennono mu bavubuka.

Namale aweereddwa ebirabo ebyenjawulo omuli ne kapyata w’emmotoka.
Bisakiddwa: MK Musa