Abantu ba Kabaka mu Buganda n’ebweru waayo bajjukiziddwa okuteeka mu nkola n’okukuuma byebalina nga babiteekerateekera, omuli n’okubigguliwawo enkola za insuwa, nga singa bibeera bifunye obuzibu babeerako gyebaddukira.
Katikkiro abawadde amagezi nti okwerinda ssi buti, era naawa ekyokulabirako eky’obuweereza mu by’obulamu, eby’obulimi n’ebyenjigiriza, n’okukuuma eby’obugagga nga tebitatagaanyiziddwa.
Agambye nti ng’abantu ba Buganda beetegekera okusitula embeera zaabwe, basaanye bettanire obuweereza bwa Yinsuwa bakulaakulane.
Katikkiro okwogera bino abadde ku mukolo gw’okuzza obuggya Boodi ya ya kampuni y’obwakabaka eya Weerinde Insurance Brokerage services limited, ogubadde mu Bulange e Mengo.
Omuk. Evelyn Nabakka Kigozi asigadde ye Ssentebe wa boodi ya Weerinde Insurance Brokerage services limited, Omumyuuka ye Sam Ntulume, ba Member ba boodi kuliko Omuk Canon Alice Ddamulira,Omuk Simon Ssekankya,Omuk Elijah Kabiswa Zzizinga ne Omuk Badru Ntege.
Omumyuuka asooka owa Katikkiro Owek Robert Wagwa Nsibirwa, asabye abasiimiddwa okuddamu okuweereza mu Weerinde insurance Brokerage services limited okukozesa omuwendo gwa bannansi abettanira Yinsuwa omutono, bagwongereko.
Evelyn Nabakka Kigozi Kahiigi nga ye Ssentebe wa boodi ya Weerinde Insurance Brokerage services limited, agambye nti obuweereza bwa Yinsuwa mu Bwakabaka ne Uganda yonna bwongedde okugundiira , ekyongeddewo essuubi mu kumanyisa bannansi ebikwatagana ku Yinsuwa mu Bwakabaka n’okugiganyulwamu.
Dr. Evelyn Nabakka Kigongo Kahiigi, agamba nti okuva lwebatandika obuweereza bwabwe mu mwaka gwa 2021, basenvudde okuva ku bukadde bwa shs 276 okutuuka ku bukadde 540 mu 2023, bye bitundu 56% bye beeyongeddeko.
Yeebazizza nnyo abakozi olw’amaanyi gebatadddemu ekibatuusizza ku buwanguzi bw’engule ey’obuyiiya nebasingira wala kampuni za yinsuwa endala.
Enkola ya Buganda Agricultural insurance program ey’ebyobulimi n’amasomero, zezikyali empya ezigenda okuddukanyizibwa ku mutendera ogwa bannamikago abenjawulo.
Bisakiddwa: Kato Denis