Nampala wa FDC omuggya mu parliament nga ye mubaka wa Mawokota South Yusuf Nsibambi agambye nti obuvunanyizibwa bwayolekedde kwekugatta enjuyi eziggugulana mu kibiina kino, n'ekigendererwa eky'okuzza ekibiina mu kkubo ettuufu....
Ssaabawandiisi wa FDC Nathan Nandala Mafaabi awandiikidde sipiika wa parliament, ng'amutegeeza nti omubaka wa Kiira municipality takyali Nnampala wa FDC mu parliament. Omubaka wa Mawokota South Yusuf Nsibambi alondeddwa okudda...
Eyaliko president w'ekibiina kya FDC Rtd Col Dr Kiiza Besigye agugumbudde akakiiko k'abakadde era abebuzibwako mu kibiina kya FDC, olw’alipoota gyekakola ku mivuyo egiri mukibiina kya FDC gy’agamba nti yali...
Abakiise mu lukiiko olufuzi olwékibiina kya Forum for Democratic Change bayisizza ekiwandiiko ekiyimiriza okulonda kwékibiina kino okwetoloola eggwanga lyonna, okutuusa nga batudde ku meeza nebamalawo ebizibu ebiri mu kibiina. Mu...
Akakiiko akakulira ebyókulonda mu kibiina kya NRM kalabudde ababaka ba government mu bitundu okukomya okweyingiza mu nsonga zeby'ókulonda zonna. Kigambibwa nti abamu kuba RDC befuula abatebenkeza emirembe sso nga balina...
President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa mutaka mu ggwanga lya Serbia ku bugenyi obutongole bwagenda okumalako ennaku ebiri, okubaga entegeka ku ngeri Uganda gyesobola okukolagana ne Serbia okutumbula embeera z'abantu. President...
Olutuula lw'akakiiko akafuzi akookuntikko ak'ekibiina kya FDC olwa National Council lutandise ku ssaawa mukaaga n'ekitundu (12:30pm) ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi, wabula abamu ku ba memba bagaaniddwa okuyingira. Olutuula lukubiriziddwa...
Police eyiiriddwa ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi okutaangira ebikolwa ebyefujjo ebiyinza okuvaamu okuyiwa omusaayi. Abamu ku bannakibiina bakedde ku kitebe ky'ekibiina mu kwetaba mu lutuula lw'akakiiko akookuntikko ak'ekibiina aka...
President Yoweri Kaguta Museveni agambye nti wakukolera wamu n'akakiiko kabakulembeze akassibwawo okwogerezeganya ne president wa Russia Vladmir Putin ne munne owa Ukraine Volodymyr Zelensky, bayimirize okulwanagana kwebalimu okututte obulamu bw'abantu...
Parliament wakati mu kusika omuguwa eyisizza okusaba kwa government okwongezaayo ekisanja ky'obukiiko bwebyalo okumala emyezi emirala 6. Obukiiko buno bwagwako ng'ennaku z'omwezi 10 July 2023, wabula government netegeeza nti terina...