Enguumi emyoose ku kitebe kya FDC mu masekati ga Kampala ,obukulembeze obukadde obwa Kampala district bwebubadde butuuzizza olukungaana lwabannna mawulire,olukiiko oluggya olulonde nerubazingako nebatandika okukubagana.
Bino bizeewo oluvanyuma lw’abakulu mu kibiina kya FDC okulangirira nti bamalirizza entekateeka zabwe ez’okulonda okuva ku mutendera gwe byalo okutuuka ku mutendera gwa district, wadde nga banna kibiina abamu okulonda kuno
Abakulembeze abakadde aba FDC mu district ye Kampala babadde bategese olukungaana lwa bannamawulire okwogera ku mbeera eri mu kibiina, kyokka abapya tebabaganyizza nga bagamba nti abakadde tebakyalina buyinza kwogererera kibiina wano olutalo werutandikidde.
Mugisha John kubakulembeze abakadde aba district ya Kampala agambye nti munabwe Kabaale Ivan akubiddwa nebamuddusa mu ddwaliro.
Muwaga Jesero yabadde omukulembeze w’ekibiina kya FDC ,nga kati Faruq Minawa yemukulembeze omugya ow’ekibiina kino mu kampala district
Wabula amyuka omwogezi w’ekibiina kya FDC John kikonyogo bwatukiridwa ku mbeera eno agambye nti banna kibiina bakimanyi bulungi nti okulonda kwawedde eggwanga lyonna, era kati abakulembeze abagya bebalina okutwala ofiisi
Endooliito mu FDC zaabalukawo mu mwezi gwa July 2023 ekibiina nekyetemamu, oluvannyuma lw’eyali omwogezi waakyo Ibrahim Ssemujju Nganda, Erias Lukwago amyuka president wa FDC era nga yatwala ebitundu bya Buganda n’abalala, bwebavaayo nebategeeza nti president Patrick Amuriat ne Ssaabawandiisi Nathan Mafaabi balina entegeka y’okutunda ekibiina mu NRM.
Era kigambibwa nti NRM yeyavuggirira akalulu ka Amuriat okwesimbawo ku bwa president mu kalulu k’eggwanga aka 2021, era baaweebwa omusimbi omuyitirivu, Nandala ne Amuriat gwebeegaana.
Embeera eno yaviirako abamu ku bannakibiina okuzira okulonda okwali kugenda mu maaso nga bagamba nti kwali kumenya mateeka, wabula abalala nebalonda mu bitundu ebyenjawulo ekireseewo okusika omugwa mu bukulembeze bwa FDC.#
Bisakiddwa: Lukenge Sharif