Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr. Stephen Samuel Kazimba Mugalu, atongozza kawefube w’okutandika okunoonya n’okufuna ebyapa by’ettaka ly’ekkanisa lyonna mu bendobendo lye Rwenzori.
Ssaabalabirizi kawefube ono amutongolezza ku lutikko ya St John’s Cathedral -Kabarole, mu kibuga Fort Portal mu bulanirizi bwe Ruwenzori.
Mu ngeri y’emu asiibudde abeeyo nga yetegekera okuwummula mu August wa 2027.
Enteekateeka y’okunoonya ebyapa ku ttaka ly’ekkanisa mu bendobendo ly’e Rwenzori SsAabalabirizi ajikwasizza ekItongole ekivunAanyizibwa ku by’obugagga by’ekkanisa ekya Church Commissioners Holding Company Limited, nga kikolagana ne Ministry y’ebyettaka, amayumba n’enkulakulana y’ebibuga.
Archbishop Kaziimba bwabadde atongoza kawefube ono, atenderezza Ministry yeebyettaka olwokukwasizaako ekkanisa mu kukuuma ettaka lyayo n’okubayambako mu kubafunira ebyapa ku ttaka eryesenzezzaako abaseddekezi.
Agambye nti ettaka ly’ekkanisa erisiinga lyaweebwayo abantu abaagaliza ekkanisa, nga mu biseera ebyo tebaafangayo nakufuna biwandiiko, wabula nti ensangi zino abaana naabazuukulu baabo abaawayo ettaka lyabwe ate bafuukidde ekkanisa ekizibu nebezza ettaka eryo.
Ajjukizza abakulembeze mu kkanisa naddala mu bulabirizi bwa Rwenziri, okufaayo okuteeka enkulakulana ku ttaka eryo abantu baleme okulyesenzaako.
Dennis Obbo, ayogerera ministry y’ebyettaka nga naye yeetabye ku mikolo guno agambye nti government nnetegefu okukwasa ebitongole by’ekkanisa byonna ebyapa byabyo nga president bweyabalagira.
Agambye nti president yabalagira okukolagana nenzikiriza zonna ezirina ettaka eryetaaga ebyapa, era nti ekibinja ky’abakugu okuva mu ministry y’ebyettaka kyakumala ennaku 10 mu bulabirizi bwe Rwenzori nga bakuηaanya obujulizi ku ttaka ly’ekkanisa.
Omkolo guno gwetabiddwako omulabirizi wa Rwenzori, The Rt Rev Reuben Kisembo, owa South Rwenzori, The Rt Rev Nason Baluku, omuwanika w’ekitebe kye kkkanisa, Balaam Muheebwa, Mark Lukyamuzi, kulwa ssenkulu wa kampuni ya Church Commissioners Holding Company Limited, abawandiisi boobulabirizi obukola ebendobendo lye Rwenzori, bannandiini nabawereza abalala mu kkanisa bangi.
Bisakiddwa: Ddungu Davis











