Akakiiko ka parliament akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya government aka Cosase,kalagidde bambega ba police abatuula ku kakiiko kano bagende mu kampuni yamunnamateeka Patrick Katabaazi Kiconco eya Pathway company Advocates bafune kalonda yenna akwata ku nsimbi obuwumbi bwa shs 39, ezamuwebwa government okuliyirira abalimi b’amajaani.
Ensimbi zino government yazisasula ng’eyita mu kitongole ki NAADS,nga munnamateeka Patrick Katabaazi Kiconco yeyakiikirira bannanyini nursery bed abasoba mu 700, abaaguza government ensigo z’amajaani geyagabira abalimi mu bugwanjuba bwa Uganda.
Wabula bannanyini nursery bed basinzidde mu kakiiko Kano neboogera kaati nti yadde munnamateeka ono ensimbi zino obuwumbi 39 yabufuna, yabasasulako bitundu ensimbi zaabwe endala naazeekomya.
Akakiiko ka cosase kaatadde munnamateeka Ono kunninga akawe ebiwandiiko ebikwata ku bantu beyasasula ensimbi zino, ne account ya bank kweyabasasulira wabula yeeremye nti tasobola kwanika mu lujjudde ebintu by’abantu be.
Amyuuka ssentebbe wakakiiko kano era omubaka omukyala owa district ye Amuru Akello Lucky alagidde ba mbega ba Police bagende ku office ya munnamateeka eno nga bayita mu mateeka agalungamya entambuza yemirimu gyobukiiko bwa parliament ,bagyeyo ebiwandiiko ebyo.
Baweeredswa ebbanga lya wiiki 2 zokka nga bakoze alipoota ku binaaba bizuuliddwa, babyanjulire akakiiko, kasobole okubyanjula mu parliament eyawamu.#