Omukulembeze w’ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu alabudde banna byabufuzi abalonde ku mitendera egyenjawulo abalowooza nti bamanyi okusinga abantu abaabalonda, agambye nti berimba.
Kyagulanyi Ssentamu asiibye Fort portal gy’ayogereddeko eri abawagizi b’ekibiina kya NUP ababadde bakunganye okumwaniriza mu kitundu kino, era agguddewo ne ofiisi za NUP ku Ruhandika street mu kibuga Fortportal.
Kyagulanyi agambye eggwanga lyava ku mulamwa, ekireetedde abantu ba bulijjo okutandika okuboggolera ne kubakulembeze babwe bwebalaba nga bava ku mulamwa gwe ggwanga, omuli n’abegaggawazizza nga tebakyafa ku bantu ba bulijjo.
Agambye nti singa ekibiina kyabwe kinakwata obuyinza bwe ggwanga bagala buli kitundu kye ggwanga ekirimu eby’obugagga kikulakulanyizibwe okusinziira ku byobugaga ebikirimu.
Asabye parliament eddemu yekube mu kifuba ku tteeka eriwera amayirungi mu ggwanga, ng’agamba tawagira bantu kugalya naye waliwo banna Uganda bangi abagagawalidde ku kirime kino nekiwerera nabaana babwe nga singa kiwerebwa ebbula ly’emirimu ligenda kweyongera.
Kyagulanye ali wamu n’abakulu abalala mu kibiina nga batalaaga 4ggwanga nga baggulawo ofiisi z’ekibiina kino ekya NUP, n’okwogerako n’abawagizi b’ekibiina kino ensonga ezenjawulo
Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya ategezezza nti offiisi zabwe eziggulwawo mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, zigendereddwamu okukumaakuma abawagizi babwe n’okwongera okuzimba emirandira gy’ekibiina.
Kinajjukirwa nti bwebaabadde baggulawo offiisi za NUP e Mbarara, kigambibwa nti Kyagulanyi bweyatandise okwogera radio n’egyibwako okumala akaseera.
Police yalabudde aba NUP obutagezaako kukuba nkungaana mu bifo by’ebibangirizi oba ebisaawe, balina kuzikuba munda mu bizimbe.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif