President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yekokkodde amabanja mangi Uganda gezze yeewola nti tegalina kyegagasse ku nkulakulana ya Uganda.
Bino abiyisizza mu kiwandiiko ekyemiko 26, kyawandiise ng’anyonyola ku kkoligo world bank lyeyatadde ku Uganda eryobutaddamu kuwola Uganda nsimbi, olw’etteeka Uganda lyeyayisa erikangavvula abeenyigira mu mukwano n’obufumbo obw’ekikula ekimu.
Mu kiwandiiko kino Museveni asoose kutegeeza nti obuyambi namabanja agawolebwa Uganda aganiriza era gasobola bulungi okuyambako enkulakulana y’eggwanga singa gabeera gakozeseddwa bulungi abantu abatuufu sso ssi abo abakolerera abazungu.
Wabula Museveni yoomu, agambye nti amabanja agava mu bazungu n’obuyambi bisobola okubeera ensibuko y’obusambattuko n’okuzingama kwenkulakulana y’eggwanga, nga bwekirabwako mu mawanga g’obuggwanjuba bwa Africa.
President Museven yebuuzizza nti bwekiba nti amabanja ago n’obuyambi okuva mu bazungu buyambako enkulakulana y’amawanga, nti ate lwaki obutasambattuko n’entalo teziggwa mu mawanga okuli Guinea Conakry , Mali , Burkina Faso , Niger ,Central Africa Republic , DRC , nendala obuyambi obuyitivu namabanja amayitirivu gyebitwaalibwa.
Okusinziira ku Museveni, mangi ku mabanja ago tegalina kyegongera ku nkulakula y’amawanga.
Anokoddeyo ensimbi obukadde bwa ddoola za America 800 ze trillion za Uganda 3 ezeewolebwa ministry yebyobulimi mu bbanga lyamyaka 10, nga zaali zakukulakulanya byabulimi omwali okugula tractors ezirima nebirala, wabula zaafa ttoge,nti ministry eno kumpi yazimalawo eteekateeka misomo.
Museveni takomye awo, agambye nti abagabirizi b’obuyambi n’abawola Uganda ensimbi tebaagaliza Uganda kukulakulana, naawa ekyokulabirako nti emyaka mingi egiyise, Uganda ebadde ekola eddagala lya ARVS eriweweeza ku kawuka ka mukenenya, wabula ekyennaku nti abagabirizi bobuyambi, babadde tebakkiriza Uganda kugula ddagala lino erya ARVs okuva mu kampuni za Uganda, nti wabula Uganda ebadde erigula mu mawanga malala.
Museveni akinogaanyiza nti Uganda tegenda kutiisibwatiisibwa kirangiriro kya world bank okuyimiriza okuwola Uganda ensimbi, nti Uganda ejja kuyimirirawo.
Anokoddeyo ensonga 4; Uganda kwegenda okwesigama okweyimirizaawo, okuli enkola ya mwoyo gw’eggwanga ali mu bannayuganda abagoberera NRM byebagamba, eggye ly’eggwanga erikuumye eggwanga lino, enguudo ez’omulembe, amasanyalaze nebirala saako bannekolera gyange abataddewo amakolero agawadde bannansi emirimu, kwossa akatale akagazi bannansi gyebatunda byebakola.
Museveni akkomekereza alabula abazungu ne world bank nti Uganda tegenda kukkakibwa kukkiriza muze gwa bjsiyaga, era agambye nti amawanga gabazungu galina okukimanya nti okukolagana ne Uganda obukwakulizo tebulina kubeera ku mukwago gwabikula kimu.#