Sipiika wa Parliament Anita Among akoze omukolo ogusombodde abantu abenjawulo, okwebaza Katonda olw’ebirungi byamutuusizzaako.
Omukolo gubadde mu muluka gwe Aeyerere mu gombolola ye Kamutur mu district ye Bukedea gy’akiikirira ng’omubaka omukyala.
Sipiika Among yategese enkungaana ezimaze ennaku 2 mwakyalizza n’okusisinkana abantu abenjawulo.
Ababaka ba parliament abasoba mu 300 bagyatabyeko, naddala abava mu kibiina lya NRM, ba minister n’abantu abalala bangi.#