Omukulembeze w’ekibiina agugumbudde banna kibiina kya NUP abagenze bava ku mulamwa olw’obusente, nti n’abalabula nti bajjukire nti abantu abaabalonda bakyaliwo era nakalulu kabwe bakalina.
Kyagulanyi Ssentamu asinzidde mu bitundu bye Mbarara bwabadde agulawo ofiisi empya ez’ekibiina kino ,n’okwogerako n’abawagizi be kibiina kino ababadde bamulindiridde.
Kyagulanyi Ssentamu ajjukiza abakulembeze b’ekibiina kya NUP nti bajjukire nti waliwo banna Uganda abaafiirwa obulamu olw’enkyukakyuuka, nabamu abakyali mu makomera olw’ebyobufuzi.
Mungeri yemu Kyagulanyi avumiridde obusosoze mu mawanga obutekebwa mu by’obufuzi agambye nti enkola eno banna Uganda balina okujigoba kubanga esiga obukyayi mu bantu.
Kyagulanyi mungeri yemu mweralikirivu olw’ebbula ly’emirimu mu ggwanga kyagambye nti okutwala banna Uganda ebweru nebayisibwa ng’abadde nabamu nebafiirayo, naye nga banansi basasula omusolo mungi wano naye nti ebikolebwa mu musolo guno bitono
Kyagulanyi awerekedwako abakulembeze b’ekibiina kya NUP kwosa ababaka ba Parliament banna kibiina, era nga abantu b’e Mbarara babalindiridde mubungi ng’enguudo zonna zikwatiriddr.
Obutafaananako ng’enkungaana Kyagulanyi zazze akuba nga zigumbululwa ab’ebyokwerinda ku mulundi guno babaddewo nabo nga bayimiridde ku makubo era ng’ebigenda mu maaso babiraba, olukungaana oluwedde buli muntu nadda gyeyavudde.
Wabula wadde biri bityo police ebalabudde obuteeyibaala mu nkungaana endala, zonna balina okuzikuba nga basoose kufuna lukusa lwa police.#