Kooti ewozesa abalyake n’abakenuzi eyimirizza emisango egivunaanibwa minister w’ensonga ze Kalamoja Mary Gorret Kitutu egy’okwezibika amabaati ga government agaali ag’okuwebwa abanaku mu Kalamoja.
Minister agamba nti abasirikale ba police abanoonyereza ku misango bamutulugunya, oluvannyuma lw’okweyanjula ku kitebe kyabwe, nga bamusoya kajjojijjoji w’ebibuuzo.
Okusaba kw’okuyimiriza omusango oguvunaanibwa minister kuteekeddwayo Dr. James Akampumuza munnamateeka we..
Minister agamba nti nga 4 April,2023 abasirikale baamusiba kaantuuntunu nebamuvuga okutuuka e Kayunga, n’ekigendererwa eky’okumukkirizisa emisango.
Wano munnamateeka we wasinzidde n’ategeeza nti ebikolwa ebyo byali byakutulugunya minister, era nagamba nti ebikolwa ebirinnyirira eddembe ly’abateeberezebwa okuzza emisango bibeera bimenya ssemateeka.
Bannamateeka abagala kooti esooke esalewo ku musango guno ogw’okutulugunya minister bweyali yakakwatibwa, nga kooti tenagenda mu maaso na musango gw’amabaati.
Omulamuzi Jane Kajuga aguli mu mitambo ataddewo olwa nga 19 August lwegunaddamu okuwulirwa.#