Obukulembeze obwokuntikko obw’ekibiina ki National Unity Platform bukyoomedde ababaka ba parliament ba ssemugayaavu, abatakoze kibasuubirwamu ekiviiriddeko abalonzi okwevuma ekyabalonza ababaka abo ku kaadi ya NUP.
Babadde mu lukiiko lwa National executive committee olumaze ennaku 2, lwetabiddwamu n’akabondo k’ababaka ba NUP mu parliament.
Ensonda zitegeezezza nti abaasinze okuteekebwaako olukongooolo bebabaka bannakibiina kino abalondebwa nebwebwa ebifo by’obwaminisiter ku ludda oluvuganya government mu parliament.
Banokoddeyo abamu ku bbo okuba nti emirimu egyabaweebwa balinga abaagisuulawo, ensisinkano z’olukiiko lwaba minister ku ludda oluvuganya government ezituula buli Tuesday tebakiikayo yadde okuwa okwenyonyolako.
Bino webigidde nga wabulayo emyezi mitino nnyo okukyusakyusa mu bukulembeze bw’oludda oluvuganya government mu parliament zituuke zisuubirwa okukolebwa mu December 2023.#