Omuyimbi Daudi Mugema afiiridde mu Ssanyu Hotel e Gulu, gyeyagenze n'ekigendererwa eky' okusisinkana Gen. Salim Sale mukwano gwe okumala akaseera era abadde amukwasizaako okufuna obujanjabi. Abadde amaze akabanga ng'atawanyizibwa ebirwadde...
Bannabitone ne mikwano gy'omugenzi Paul Kato Lubwama bategese ekyoto ekyenjawulo okumujjukira. Kato Lubwama yawezezza emyaka 2 bukyanga ava mu bulamu bwansi eno, yafa nga 07 June,2023 ku myaka 53 egy'obukulu....
Omuyimbi Stecia Mayanja akiise embuga n'asisinkana Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, okumwanjulira ekivvulu kye kyateeseteese nga 07 June,2025 ku Serena Hotel mu Kampala. Katikkiro akubirizza bannabitone obuteerabira...
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde bannabitone ku mitendera egyenjawulo amagezi, bafuule ebitone byabwe Omulimu ogujjudde, mu kifo ky’Okulowooleza mu kucamula Obucamuzi abantu. Abadde asisiinkanye Omuyimbi Sophie Nantongo...
Ekivvulu ky'ennyimba ekya Tendo Worship Concert ekyategekeddwa aba Heart Health Foundation ku Hotel Africana mu Kampala. Kigendererwamu okusonda ensimbi ez'okudduukirira abaana abazaalibwa nga balina endwadde z'emitima. Kyetabiddwamu Choir okuva mu...