Bannabitone ne mikwano gy’omugenzi Paul Kato Lubwama bategese ekyoto ekyenjawulo okumujjukira.
Kato Lubwama yawezezza emyaka 2 bukyanga ava mu bulamu bwansi eno, yafa nga 07 June,2023 ku myaka 53 egy’obukulu.
Yali munnakatemba, omutendesi w’emizannyo, omuzannyi era omuwandiisi w’emizannyo, omuyimbi era omuwandiisi w’ennyimba, era nga yali mukozi ku CBS radio.
Bannakatemba nga bakulembeddwamu Abby Mukiibi bategese ekyoto ekyenjawulo ku Bat Valley Theatre okumujjukira.
Bayogedde ku bumalirivu n’obuvumu Kato byeyalina nebakkaanya okumulabirako mu byebakola.
Kato Lubwama era yali munnabyabufuzi omuwagizi wa Democratic Party, wabula nga yali yatandikawo ekisinde kye kyeyatuuma “Solidality” kyeyakozesa okukunga bannalubaga South okumulonda abakiikirire mu parliament mu kalulu ka 2016.#