Kooti ejulirwamu mu Kampala enywezezza ekibonerezo ekyaweebwa Wamala Godfrey Troy, oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okwenyigira mu kutta eyali omuyimbi nakinku Moses Ssekibogo eyali amanyiddwa nga Mowzey Radio.
Abalamuzi Christopher Gashirabake, Asa Mugenyi, John Mike Musisi, banywezezza ensala ya kooti enkulu ey’asingisa Troy omusango gw’obutemu mu 2019.
Wamala yali yajulira mu nsala ya kooti, ng’agamba nti obujulizi obwaweebwa bwali bulimu ebirumira, nga n’olwekyo yali tateekeddwa kusingisibwa musango gw’okutuusa obuvune ku Mowzey Radio obwamuviirako okufa.
Bino byonna byaliwo mu kifo ekisanyukirwamu ekya De Bar e Entebbe.
Bisakiddwa: Betty Zziwa