Omuyimbi Kabuye Ssembogga yebazizza bannauganda abamuwagidde n’okwagala ennyimbaze zazze ayimba kati emyaka 42 beddu.
Ssembogga wadde alabise ng’omugonvugonvu tekimulobedde kusanyusa bawagizi be, mu kivvulu kye ekiyindidde ku Serena Hotel mu Kampala.

Ayiimbye ennyimba ze zonna okuli Faima, Sheilah, Ebisaanyi n’endala.

Awerekeddwako abayimbi abalala okubadde Eddy Yawe, Willy Mukaabya, Betty Mpologoma,Carol Nnantongo, Mary Bata, Bruno K n’abalala.


Ekivvulu kya Ssembogga kitegekeddwa Balunywa Promotions, nekiwagirwa Movit, UCC n’abalala.#