Omuyimbi Stecia Mayanja akiise embuga n’asisinkana Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, okumwanjulira ekivvulu kye kyateeseteese nga 07 June,2025 ku Serena Hotel mu Kampala.
Katikkiro akubirizza bannabitone obuteerabira bitundu gyebava, bisobole okukulaakulana nabo.
Agambye nti bannabitone abatutumukira mu bitundu mwebasibuka balina emikisa mingi okuwangaalira mu kisaawe kyÉbyensanyusa.
Katikkiro agambye nti musanyufu olwa Bannabitone naddala abayimbi abatadde ebirungo mu Nyimba , naddala nga bakozesa ebirungo byÉnnyimba enkadde, okuzizza obuggya.
Stecia Mayanja yebazizza Katikkiro nÁbantu ba Buganda ne Uganda yonna okumuwagira naakuza ekitone, naabasaba okumubeererawo nga 07 June, 2025 ku Serena Hotel
Ezimu ku nnyimba za Stencia Mayanja kuliko; Sirinda bide, Sisuubira, Kantinti, Alintwala, Tuli mu mpaka, Tosala gwa kawala, Biwero, Game over.