Omuyimbi Daudi Mugema afiiridde mu Ssanyu Hotel e Gulu, gyeyagenze n’ekigendererwa eky’ okusisinkana Gen. Salim Sale mukwano gwe okumala akaseera era abadde amukwasizaako okufuna obujanjabi.
Abadde amaze akabanga ng’atawanyizibwa ebirwadde ebyenjawulo,nga negyebuvudeko abadde yazimba okugulu natwalibwako nebweru we ggwanga okulongosebwa.
Daudi Mugema yeyayiimba oluyimba oluyitibwa “Katonda w’abanaku teyeebaka….”
Gyebuvudeko omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago yamusisinkana nasaba banna Uganda okumuyambako ajanjabwe.
Omukwanaganya w’abayimbi n’abategesi be bivulu Tonny Ssempijja nga naye ali mu kibuga Gulu agambye nti amawulire g’okufa kwa munabwe gabakubye wala.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif