Abaali abakozi ba kampuni ya Nytil nebafiirwa emirimu gyabwe mu myaka gye 90, bafunye kukamwenyu, omulamuzi wa kooti enkulu Faridah Bukirwa bwabategezezza nti balina okusasulwa sente zebabanja. Omulamuzi Bukirwa agambye...
Abakukusa ebiragalalagala n'ababiguza abaana b'amassomero baakusibwa mayisa mu nkomyo, okusinziira ku bibonerezo ebiteereddwa mu bbago ly'etteeka eryanjuddwa mu parliament okulwanyisa ebiragalalagala erya Narcotics drugs and psychotropic substance control bill. Etteeka...
Ab'obuyinza e Mayuge baliko abafumbo bebakutte ku bigambibwa nti baayokezza omwana wabwe nga bamulanga okweyongeza enva z'ebyenyanja. Omwana eyayokeddwa emikono n'emimwa wa myaka 2. Abakwate kwekuli Emmanuel Byakika ne mukyalawe...
Government ya Uganda etandise okubala abakozi baayo bonna okwetoloola eggwanga okusobola okubateekerateekera obulungi n'okuggyamu ab'empewo. Mu nteekateeka eno, buli mukozi wa government alina okweyanjula eri office y'omubazi w'ebitabo bya government...
Ab'oluganda 3 basirikidde mu nnabbaambula w'omuliro akutte ennyumba mu kiro nga bebase. Abafudde kuliko maama n'abaana be 2, ku kyalo Kinaawa ku luguudo lwe Nakawuka mu Kyengera town council mu...
Ssaabaduumizi wa police ya Uganda Martin Okoth Ochola ataddewo akakiiko ka bambega akenjawulo, kanoonyereze ku ngeri tikiti ezikubibwa bannyini bidduka eziwera 22,561 gyezaabulankanyizibwamu abaserikale mu police y’ebidduka, nebatuuka okufiiriza government...
Abasaabaze abadda e Masaka n'okweyongerayo bajjumbidde entambula y'okumazzi bayita Nakiwogo - Ntebe okutuuka ku mwalo e Bukakkata. Omu kubakola ku meeri e Nakiwogo Ivan Lubuye agamba nti abantu bazze mu...