Ekibiina ekigatta abavuzi bóbugaali mu ggwanga ekya Uganda Cycling Association kisse omukago ne kampuni ensogozi ya soda eya Cocacola, okukolera awamu okukungaanya obucupa bwa plastics okwetoloola eggwanga lyonna, okutaasa obutonde bwénsi.
Mu nteekateeka eno cocacola etaddewo ebifo omugenda okukungaanyizibwa obucupa, nga kati kikakata ku buli muntu asanze akacupa ka plastic oba amaze okukakozesa okukafunyafunya nákasuula mu bipipa ebisiddwa mu bifo ebyenjawulo.
Obucupa buno bwakukyusibwa bukolebwemu ebintu ebirala nga Reflector jackets nébirala.
Mu nkola eno abavubuka bakusomesebwa obulungi bwókukuuma obutonde bwénsi.