Eyali omubaka wa Kawempe South mu Parliament Mubarrack Munyagwa Mugaatigwabatta ne banne abalala 4 bakwatiddwa police ng’eri wamu n’akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka ga president aka Anti-Corruption Unit ku bigambibwa nti abadde yenyigira mu bufeere bw’ettaka.
Kigambibwa nti waliwo ettaka erisangibwa e Mutungo eriwerako yiika 2 n’ekitundu erigambibwa nti nnyiniryo mugwira era alirinako liizi, wabula Munyagwa nti yalitutteko abantu nebayonoona ebintu byebaasanzeeko.
Munyagwa akwatiddwa ne Paddy Kabuye nga ye Ssentebe wa LC ye Bugu Zone e Busaabala Masajja Division mu district ye Wakiso, Joweria Nakafero, Godfrey Buwembo ne Isa Ssekitooleko,nga kigambibwa bebenyigira mukwonoona ebintu byonna byebasanga ku ttaka eryo.
Okusinzira ku kakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g’obwapresident, ettaka eryogerwako lya Janaan Opio alirinako liizi era abadde alina n’emirimu gy’akolerako okumala akaseera, wabula Munyagwa yagenzeeyo n’ayonoona ebintu ebyalibaddeko ng’agamba nti lirye era alirinako obwannanyini.
Munyagwa bamukwatidde mu Kampala era olukwatiddwa ne banne batwaliddwa ku police ye Kajjansi, nayo ebakutte n’ebasimba mu kooti y’omulamuzi w’eddaala erisooka e Kajjansi abamusindise ku alimanda okutuusa nga 12 June,2023 lwebanazzibwa mu kooti bewozeeko ku misango gy’okwonoona n’okusaalimbira ku tttaka eritali lyabwe.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru