Omukuumi wa kampuni y’obwannanyini akubye omugoba wa bodaboda amasasi agamulese nga ataawa n’addusibwa mu Ddwaliro.
Kyaseesa Ronald omukuumi ku sundiro lya mafuta erya City Oil ku Martin Road mu Kampala, y’agambibwa okukuba Mukulu Ronald amasasi agamulumizza.
Kigambibwa nti omukuumi ono afunye obutakaanya n’omugoba wa taxi ku ssundiro eryo, era mukavuvungano omugoba wa boda boda nagezaako okubataasa, omukuumi kwekufulumya amasasi agakubye omukono gw’owa bodaboda.
Okusinzira ku police Kyasesa akwatiddwa akuumibwa ku police ya old Kampala.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire asabye abakwata mundu okwewala embeera y’okufulumya amasasi nga bafunye obutakanya na bantu.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru