Eyaliko omubaka wa Lubaga South munnakatemba Kato Lubwama mukama amujjuludde mu kiro ku myaka 53 egy’obukulu.
Kato Lubwama obulwadde bumugwiridde mu kiro, naddusibwa mu ddwaliro lya Stana Medical Centre e Kitebi e Kitebi mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.
Kato Lubwama yaliko omukozi ku CBS FM ng’aweerereza mu programme Kaliisoliiso ebeerawo ku ssaawa emu eyokumakya ku mukutu gwa 88.8.
Ye yatandikawo B24 TV, ekibiina kya Diamonds Ensemble, Diamonds production n’ebirala.