President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni era nga ye mudduumizi w’amagye owokuntikko alangiridde nti abajaasi b’eggye ly’eggwanga erya UPDF abawera 54 bebattibwa, mu bulumbaganyi obwakoleddwa ku nkambi y’amagye g’omukago gwa ATMIS mu Somalia (African Union Transition Mission in Somalia.
Obulumbaganyi buno bannalukalala ba Al Shabab baabukola ku nkambi eno eya Buulo Mareer mu ennaku 9 eziyise, oluvanyuma bannalukalala ba Al Shabab nebeewaana.
Okuva olwo, omuwendo gwabajaasi abattibwa mu bulumbaganyi obwo,gubadde tegwogerwanga, okutuusa president Museven lwagutegeezezza ababaka bannakibiina Ki NRM abali e Kyankwanzi.
Museveni agambye nti amaggye g’eggwanga nga gali wamu n’amaggye g’omukago gwa ATMIS gasobodde okufufugaza bannalukalala ba Al Shabaab, era negedddiza enkambi eno eya Buulo Mareer mu kitundu kye Lower Shabelle.
Mwaabo abattibwa, mwemwali n’omuduumizi Lt Col Edward Nyororo.
Museveni anyonyodde nti eggwanga okufiirwa abajaasi abangi bwebatyo 54 kyava ku bugayaavu bwabadduumizi ,abaalagira abajaasi okuteekako njabala, era abaduumizi 2 okuli Maj Okuka ne Maj Obbo bakwattiddwa bagenda kusimbibwa mu kkooti yamaggye bawerenembe n’emisango, president Museven gyatalambuludde.
Uganda okufiirwa abajaasi 54 ,gwe muwendo ogusinga obunene ogwabajaasi abakattibwa mu bulumbaganyi okuva amagye ga UPDf lwegaagenda mu ggwanga lya somalia mu mwaka 2007.
President Museveni obulumbaganyi obwakolebwa ku magye g’eggwanga okuva lwebwagwawo ng’ennaku 26 May,2023 azze akyogera lunye nti bwava ku bwassemugayaavu n’obunafu bwabajaasi abaatwalibwa e Somalia.#