President Yoweri Kaguta Museveni asomoozeza bannansi okulaga obwagazi eri eggwanga lyabwe nga benyigira mu kulwanirira obutonde bwensi nga balwanyisa bonna abenyigira mu kubusanyaawo, naddala abamalawo ebibira n’okwesenza muntobazi.
President Museveni obubaka bwe abutisse Ssabaminister we Robinah Nabbanja ku mukolo gwókukuza olunaku lwénsi yonna olw’okwefumiitiriza ku mbeera y’obutonde obugenda busaanyizibwawo obucupa nébintu bya plastics ebirala.
Wano mu Uganda emikolo gibadde Kololo, nga gitambulidde ku mulamwa ogugamba nti “Komya okumansamasa obucupa oba Plastic leero”.
Ssabaminister Robina Nabbanja alagidde ekitongole kya NEMA okukolera awamu n’abantu abalina byebayiiyizza okukuuma obutonde bwensi, nga beyambisa ekittavu k’yensimbi ekya Environmental Fund.
Akulira ekitogole kya NEMA ekivunanyizibwa ku kukuuma obutonde bwensi Dr Balireka Akankwasa, agambye nti okweyambisa obubi ebintu bya Plastic kiviiriddeko ebibamba ebyómujjirano mu ggwanga, omuli amataba,okubumbulukuka kwéttaka, ekyeya nébirala.
Dr .Akankwasa era ategezeza nti ebibira n’entobazi byebisinze okusanyizibwawo olwabantu abalemereddwa okumanya obukulu bw’obutonde.
Omubaka wa Kampala Central Mohammad Nsereko, agambye nti wetagisaawo amateeka agakaka abantu okusasulira ebikolwa byabwe n’okukendeeza kunkozesa y’obuveera ne Plastic okutaasa obutonde.
Ebifaananyi: MK Musa