Ekitongole ekiddukaanya ekibuga ki KCCA kifulumiza Alipoota ekwata ku mulimu gw’okukuba ebiraka mu nguudo zomukibuga Kampala, gutuuse ku bitundu 70%.
Abakulu okuva mu KCCA b Kakiiko ka Parliament akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya Government ebyenjawulo ka COSASE.
Director wa engineering mu KCCA Justas Akankwasa ategezezza nti oluvanyuma lw’okufuna ensimbi baatandikirawo okuziba ebinnya mu nguudo, era kati waliwo enjawulo.
Wabula ababaka kino bakiwakanyizza nga bagamba nti enguudo nnyingi zebayitako zikyajjuddemu ebinnya, era Omubaka wa Bukoto East Richard Ssebamala agambye nti n’engeri enguudo zino gyezikubwamu ebiraka nayo ekolebwa mu ngeri ya kiboggwe.
Ssentebe wa kakiiko ka COSASE Joel Ssenyonyi alagidde abakulu mu KCCA okunyonyola omuwendo gw’ensimbi n’obudde bwebetaaga okukola enguudo mu kibuga Kampala mu ngeri esaanidde.
Akulira KCCA Dorothy Kisaka asabye akakiiko Ka COSASE okubawaayo obudde betegereze ensonga eno oluvanyuma bababuulire akakiiko obudde bwebetaaga okuddaabiriza enguudo.
Ababaka kukakiiko Kano okubadde Yusuf Nsibambi owa Mawokota South, Richard Ssebamala owa Bukoto East batadde abakulu mu KCCA kunninga okunyonyola engeri kampuni ezikola enguudo gyeziwebwamu contract.
Engineer David Luyimbazi ategezezza nti buli Kampuni eweebwa omukisa okuteekayo okusaba kwayo olw’o neziryoka zisunsulwa.
Mumbeera yemu abakulu mu KCCA bawunyisiza ababaka bwebategezezza nti Design okukolerwa enguudo nkadde zaabagibwa mu 2015, era nti ekitongole tekirina nsimbi zakusasula bantu okukola Design empya ezenguudo
Amyuka akulira ekibuga Kampala Eng David Luyimbazi era ategezeza nti ekitongole kyetaaga obuwumbi 100 okukola enguudo buli mwaka, wabula nga bafuna obuwumbi 24 bwoka zagambye nti ntono nnyo okusinzira kubwetaavu bwokukola n’okukuuma enguudo nga ziri yadde yaddeko.
Embeera yenguudo z’omukampala ezze eyogeza abantu ebikankana nga negyebuvudeko bana Uganda baasinziira ku mikutu gy’emitimbagano nebooleesa enguudo ezijudde ebinnya, ekyawaliririza omukulembeze wegwanga okulagira KCCA eweebwe obuwumbi 6 okukuba ebiraka mu nguudo z’ekibuga ky’eggwanga ekikulu Kampala.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius