Omwana omwala ow’emyaka 8 afiiridde mu kire ky’enkuba efudembye mu district eye Mukono n’ebitundu ebiriranyeewo.
Omwana afudde ye Shifula Ssesiriya Ogwala muwala w’omukyala Fauza Nalubega omutuuze ku kyalo Kavule ekisangibwa mu division ey’amassekati g’ekibuga Mukono.
Ekire ky’enkuba kino ekyogerwako kitonnye okuva ku ssaawa 3 ez’okumakya okutuuka mu ssaawa nga 6 ez’emisana galeero.
Okusinziira ku batuuze nga bakulembeddwamu Ssentebe Anna Binayiisa Kayitiro, omwana ono okugwa mu mazzi abadde agenze kuyiwa kasasiro mu mwala, ngábatuuze abawerako bwebatera okukola buli enkuba lwétonnya amazzi negamutwala era abatuuze bagenze okumunnyulula mu kidiba n
Police eyitiddwa nénnyululayo omulambo gw’omwana negutwala mu ddwaliro ekkulu e Mulago okwongera okwekebejjebwa nga n’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Ekire ky’enkuba kino era kirese Bannakibuga Mukono bangi naddala abasuubuzi abakolera mu Katale ka Kamme Valley nga bakyasimula bugolo olw’okwonoona emmaali yabwe.
Amazzi g’enkuba eyogerwako era gayingidde mu mayumba g’abatuuze mu byalo ebiwerako gamba nga Nabuti, Lweza, Kitega, Wantoni, Kikooza n’ebirala, negonoona ebintu byabwe bingi.
Abamu ku batuuze bano bagamba nti ekiviirako amazzi gano okwanjala negayingira mu mayumba gabwe kwekuzimba mu ntobazzi nókusuula kasasiro mu myala egitambuza mukoka.