Omusumba w’ekkanisa y’abalokole eya Tukyuke International Ministries e Nansana Kabumbi ayitibwa Nkurunziza Fiarce akaligiddwa emyaka 8 ng’ali mu nkomyo, asingisiddwa emisango 14 egy’okukusa abaana.
Omusumba okusibwa emyaka egyo kiddiridde okukkiriza emisango gy’okukusa abaana mubumenyi bw’amateeka, n’asaba okusonyiyibwa.
Wabula kkooti enkulu ewuliriza emisango egiri ku mutendera gwensi yonna esazeeeo okusiba Nkurunzizza emyaka 8 mu kkomera.
Nkurunzizza yakwatibwa ne banne abalala 3 mu November 2019, era bano baludde nga begaana emisango egyo.
Nkurunzizza yekyusirizza mu kiti ng’embazzi nakkiriza emisango gino, bwatyo kwekukaligibwa.
Okusinziira ku biwandiiko bya kkooti, Nkurunzizza ne banne abakyegaana emisango gino,bekobaana nebalimbalimba abazadde okuva mu bitundu by’obugwanjuba bw’eggwanga nebabawa abaana baabwe okubafunira sikaala sso nga tezaali ntuufu.
Abaana bano baakukunulwa mu kiyumba ekimu mu bitundu bya Nansana nga tebasoma, kyokka nga omusumba ne banne baalinga bakwata ebifananyi byabaana bano nebabasabirako obuyambi emitala w’amayanja n’ekigendererwa kyokwekkusa bokka.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam