Abatuuze mu Ggombolola bbiri okuli Kikandwa ne Kalangaalo mu district ye Mityana basobeddwa oluvannyuma lw'omugga Matte okubooga neguwaguza . Ebyentambula bisannyaladde mu kitundu era abantu kati basanga akaseera akazibu okutuuka...
Abatuuze ku kyalo Dewe Lutembe mu Kajjansi Town Council mu District ye Wakiso baguddemu ekikangabwa, omwana bw’akubye mwana munne ekikonde ekimutiddewo. Omwana owemyaka 14 yakubye mwana munne ow'emyaka 12. Kigambibwa...
Police mu Kampala n’emiriraano atandise okunoonyereza ku kiviiriddeko omusirikale w’ekitongole ekikuumi ekya SGA okwekuba amasasi agamusse. Atuhaire Rogers kigambibwa nti yeyekubye amasasi, era Police egamba nti etandikiddewo okunoonyereza oba yeyekubye...
Police mu district ye Luuka ekutte abasawo bekinnansi babiri abateberezebwa okusima amalaalo nebaggyamu ebisigalira by'omufu. Abatemeza mu kaduukulu ka police e Luuka kwekuli Bulayimu Bateesa ne Mudoola Gerald nga batuuze...
Abadde akulira abakozi ku district ye Kagadi Godfrey Musinguzi wakumdla emyaka 3 ngali mu kabulamuliro e Luzira, oluvannyuma lw'okusingisibwa omusango gw'okukozesa obubi wofiisi. Okusinziira ku bujulizi, Musinguzi ng'akozesa ekifo kye...
Abaali abakozi ba kampuni ya Nytil nebafiirwa emirimu gyabwe mu myaka gye 90, bafunye kukamwenyu, omulamuzi wa kooti enkulu Faridah Bukirwa bwabategezezza nti balina okusasulwa sente zebabanja. Omulamuzi Bukirwa agambye...