Police mu Kampala n’emiriraano atandise okunoonyereza ku kiviiriddeko omusirikale w’ekitongole ekikuumi ekya SGA okwekuba amasasi agamusse.
Atuhaire Rogers kigambibwa nti yeyekubye amasasi, era Police egamba nti etandikiddewo okunoonyereza oba yeyekubye oba bakubye mukube nti kubanga emmundu ye bamusanze nayo.
Bino bibadde ku kizimbe kya Mukwasi building ku Buganda Road mu Kampala mu kitundu ekya Nakasero 3.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agambye nti omulambo gw’omugenzi guzuulidwa musirikale munne abadde aze okukola emisana.
Oweyesigire agambye nti omulambo gwa Atuhaire gusangiddwa ku kizimbe kye nnyini kyabadde akuuma, era nga waliwo abantu 6 abakwatiddwa police bajiyambeko mu kunoonyereza.
Bisakiddwa : Lukenge Sharif