Police mu district ye Luuka ekutte abasawo bekinnansi babiri abateberezebwa okusima amalaalo nebaggyamu ebisigalira by’omufu.
Abatemeza mu kaduukulu ka police e Luuka kwekuli Bulayimu Bateesa ne Mudoola Gerald nga batuuze ku kyalo Namadope e Luuka.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Busoga North Asp Kasadha Mike agambye nti abaasimye amalaalo n’ebaggyamu omufu, bamututteko ekitundu ekya waggulu, ekiwuduwudu ekya wansi nebakireka ku ngulu.
Kasadha agamba nti beyambisizza mbwa mukongalusu, ebatutte butereevu ku ssabo lya Bateesa Bulayimu.
Kasadha alabudde abagufudde omuze okutetaaganyanga eddembe lyabafu mu kitundu ekyo okukikomya bunnanbiro.
Bisakiddwa: Kirabira Fred