Kkooti enkulu ewuliriza emisango gya Nnaggomola mu Kampala eragidde ekkomera lye Luzira okwawula omusibe Nasif Kalyango omu ku bantu 6 abavunaanibwa omusango gw’okutemula Maria Naggirinya ne ddereeva we Kitayimbwa Ronald, oluvannyuma lw”okulumiriza banne okwetaba mu ttemu lino.
Omulamuzi Isaac Muwata y’ayisizza ekiragiro kino oluvannyuma lwa Kalyango eyali omuvuzi wa bodaboda okutegeeza kooti nti banne bwebavunaanibwa omusango bamutiisatiisa nti kasita abalonkooma mu kkooti bagenda kumutta.
Kalyango ategezezza kooti nti abavunaanibwa okuli; Copoliyamu Kasolo ne banne baamutuukirira ku siteegi ya Boda kweyali e Nateete nga bagala okubatwalako mu bitundu bye Kaleerwe ne Lungujja, nti wabula baali bangi kwekubasaba ku ssimu yabwe akubire munne babavuge ku pikipiki.
Kalyango annyonyodde nti yayita munne Sharif Mpanga okukola omulimu guno nti wabula bwebatuusa abantu bano e Lungujja, waliwo emmotoka eyali ejja omugambibwa nti abagenzi mwebaali, era abavunaanibwa kwekuva ku pikipiki neboolekera emmotoka ate Kalyango ne munne nebaddayo e Nateete.
Kalyango yewakanye okwenyigira mu kuwamba oba okutemula abagenzi, wabula n’alumiriza nti Kasolo ne banne bebenyigira mu ttemu lino.
Naggirinya ne Kitayimbwa abazigu bababuzaawo mu August wa 2019 mu bitundu bye Lungujja, oluvannyuma emirambo gyabwe gyazuulwa mu kitoogo ekimu e Mukono.
Omusango guno gwongezeddwayo okutuusa nga 30th May,2023 lwegunaddamu okuwulirwa.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam