Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 ya trillion 52 n’obuwumbi 740.
Embalirira eno yeyongeddemu trillion 4 nnambirira okuva ku trillion 48 n’obuwumbi 130 ey’omwaka gw’ebyensimbi guno ogwolekera okugwako 2022/2023.
Mu mbalirira eno eya trillion 52 nobuwumbi 740 , gavument okugiwanirira eteekateeka okukungaanya omusolo gwa trillion 29 nobuwumbi 670 guno gwakulinnya okuva ku musolo ogwa trillion 25 gavument gweyateekateeka okukungaamya mu mwaka gwebyensimbi guno 2022/2023.
Government okuyimirizaawo embalirira eno, esuubira okufunayo obuyambi bwa trillion 2 n’obuwumbi 700 okuva mu bagabirizi b’obuyambi.
Government ez’ebitundu zakukungaanya omusolo gwa buwumbi 287.
Ensimbi trillion 20 zezisuubirwa okwewolebwa okuva wano mu munda mu ggwanga n’ebweru w’eggwanga.
Ku mbalirira eno eya trillion 52 nobuwumbi 740, government ensimbi zegamba zerinawo zegenda okukozesa okuddukanya eggwanga ziri trillion 25 n’obuwumbi 160, ezisigalawo trillion 27 n’obuwumbi 580 zigenda kusaasaanyizibwa okusasula amabanja Uganda gezze yeewola emyaka egiyise.
Kuno kuliko ezokusasula ku mabanja gennyini okuli egeewolebwa ebweru wa Uganda trillion 2 n’obuwumbi 640, saako trillion 6 n’obuwumbi 110 ezigenda okukozesebwa okusasula amagoba ku mabanja government gezze yeewola.
Government era egenda kusaasaanya obuwumbi 205 okusasula ku bbanja bannansi lyebagibanja eziri eyo mu trilion 2, abazze bagiguza ebintu ku bbanja.
Egenda kusaasaanya trillion 1 n’obuwumbi 504 okusasula ku bBanja erya trillion 3, bank enkulu zejibanja, nga zino tezaasooka kuyisibwa parliament,
Okutwaliza awamu ensimbi trillion 16 n’obuwumbi 832 government zegenda okukozesa okuddukanya emirimu mu bitongole byayo okuli okusasula emisaala, ensako, amafuta, okugula emmere n’ebirala ezimanyiddwanga reccurent budget.
Amalwaliro ga refferal gafunyeko obuwumbi 282, government ezebitundu zifunyeko trillion 4 n’obuwumbi 154, ebitebe bya Uganda mu mawanga amalala bifunye obuwumbi 189, songa ebitongole bya government eyawakati byo bifunye trillion 12 n’obwumbi 205.
Ensimbi ezokukulakulanya eggwanga omuli okuzimba amalwaliro , amasomero ,enguudo, ebizimbe n’ebirala ezimanyiddwanga development budget ziri trilion 14 n’obwumbi 431, nga kuno ebitongole bya government eyowakati birinako trillion 13 n’obuwumbi 223, amalwaliro ga refferal obuwumbi 25, ebitebe bya Uganda mu nsi endala obuwumbi 58, songa government ezebitundu trillion 1 nobuwumbi 124.
Embalirira eno bwebadde eyanjulwa mu palament, oludda oluvuganya gavument lulaze obweralikirivu nti ensimbi eziva mu bagabirizi bobuyambi, Uganda zeebadde efuna okuwanirira embalirira y’eggwanga zikendedde.
Minisiter w’ebyensimbi ku ludda oluvuganya government MUhammed Muwanga Kivumbi abuulidde palament nt kino kivudde ku kutyoboola eddembe ly’obuntu okusuukiridde mu ggwanga, obulyi bwenguzi nebirala.
Embalirira yeggwanga eyomwaka gwebyensimbi 2023/2024 yakussomwa ngennaku z’omwezi 15 June,2023 mu kisaawe e Kololo.#