Omwana omuwala ow’emyezi 3 asikiridde mu nabbambula w'omuliro akutte ennyumba mwabadde yebasiddwa. Enjega eno egudde ku kyalo Ddongwa mu muluka gwe Nakaseeta mu gombolola ye Kisekka mu district ye Lwengo...
Bannamawulire abakulembeddemu okulwanyisa obutali bwenkanya mu kibiina ekibatwala ekya Uganda Journalists Association UJA , bekubidde enduulu eri ebitongole bya government ebinoonyereza ku balyi b'enguzi mu ggwanga okunonyereza ku bakulembera ekibiina...
Abantu babiri bafiiriddewo n'abalala babiri baddusiddwa mu ddwaliro nga bali bubi, mu kabenje ka mmotoka akagudde ku Kyalo Kitigoma mu Njeru municipality mu district ye Buikwe, ku luguudo oluva e...
Police e Lugazi mu district y’eBuikwe ekutte abantu 6, kuliko 5 babadde beyita basirikale ab’eggye lya UPDF erya Reserve Force. Babadde bagumbye ku ttaka erimaze ekiseera nga likaayanirwa kampuni eya Metha n’omwami...
Munnansi wa China Wang Libao Jack wa myaka 36, akaligiddwa mu nkomyo yebakeyo emyaka 3, asingisiddwa gwakuddira sente za mukamawe n'azizannyamu zzaala. Ensimbi zeyazannyamu zzaala zaali obukadde 200 eza shilling,...
Olukiiko lw'ebyokwerinda mu district ye Kalangala luweze ebinaala byonna obutaddamu kusaabaza bantu obudde bw'ekiro. Ebiragiro bino okuyisibwa kivudde ku kinaala ekyafiiriddemu banna Uganda abasukka mu 20, kyabadde kiva ku mwalo...
Emirambo 20 gizuuliddwa, 9 banunuddwa ku bantu 34 abagambibwa okuba nti bebabadde basaabalira ku lyato erikubiddwa ejjeengo ku nnyanja Nalubaale. Police etegeezezza nti akabenje kano kavudde ku kutikka akabindo n'embeera...