Ekkanisa ya Uganda etuuzizza omulabirizi omuggya ow’obulabirizi bwa West Ruwenzori, Bishop Barnabas Tibaijuka, nebamufalaasira okuba omuwulize eri ebiragiro by’ekkanisa, abakulisitaayo nebirala
Emikolo gino giyindidde mu kibangirizi kya lutikko ya St. Barnabas Bumadu mu district ye Bundibugyo, gikulembeddwamu ssabalabirizi wekkanisa ya Uganda the Most Rev Dr. Samuel Steven Kazimba yajikulembeddemu.
Bishop Tibaijuka asoose kukuba birayiro nokufalasirwa ku nsonga n’amateeka g’ekkanisa ya Uganda okuva eri Ssaabalabirizi Kazimba era neyeyama okubigoberera.
Omuteesiteesi omukulu ku kitebe ekitambuza emirimu gyekkanisa ekya Provincial secretariat, Canon Captain William Ongeng, asoose kusoma nteekateeka ezaagobererwa ekkanisa ya Uganda mu kulonda omulabirizi ono Tebaijuka.
Mungeri yeemu omulabirizi wa Kinkizi, Rt Rev Dr. Dan Zoreka, alangiridde nti ekkanisa ya Uganda yayisizza ekiragiro eky’okwetaba mu kusimba emiti okwetolala Uganda yonna ku Sunday ejja nga 03 September,2023 era naasaba abakkiriza okujigoberera.
Omulabirizi we Soroti, Rt Rev. Kosea Odongo, nga yakulembeddemu okubuulira asabye abakulisitaayo okukwasizaako omulabirizi omuggya, n’okuba obumu bwebaba bakuganyulwa mu buweerezabwe.
Omulabirizi Barnabas Tibaijuka yaasoose okukulembera obulabirizi buno obuggya, era kaakano ekanisa ya Uganda efunye obulabirizi obwa 38 mu lukiiko lw’abalabirizi.
Bisakiddwa: Ddungu Davis