Police ekutte omujaasi wa UPDf akwatiddwa n’abazadde abalala 2 ku bigambibwa nti bazze ku baana bebazaala ne babatulugunya ekyabaviiriddeko okufa n’abalala nrbabatusaako ebisago.
Omujaasi wa UPDF akwatiddwa ye Opio Robis olumu yeyitta Akena Gabriel akola ne kibinja Kya UPDF ekya 51 mu district ye Abimu, omwana gweyatulugunyizza ye Oyok Brain myaka 10.
Kigambibwa nti omujaasi yatuma omwana Oyok Brain ku luzzi kyoka nalwayo, bweyakomyewo kwekumuddako n’amukuba emiggo egyamulese ng’apooca.
Abazadde abalala abakwatiddwa ye Emal Peter owe Serene ono yazze ku mutabani we Oboto John myaka 13 namukuba olwokugana okukola emirimu ekyamuviiriddeko okufa.
Police era ekutte Ssemaganda Ibrahim omutuuze we Bulenga Nakabugo mu district ye Wakiso , ku bigambibwa nti yazze ku muwala we Namaganda Sharon myaka 2 gyoka egyobukulu gweyasabye okuva eri maama we webamazze akaseera nga bayawukana, wabula olwa mutusizza ewaka nti naamukakkanakko namukuba okutuusa lweyafudde.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga, asinzidde mulukungana lwa banamawulire e Naguru nategeza nti abakwatte bakutwalibwa mu mbuga za mateeka babitebye era navumirira ebikolwa eby’okutulugunya abaana.#