Kkooti ento e Kabale esindise mu kkomera omusawo ku ddwaliro lya Mpalo HC IV avunaaniddwa omusango gw’okusobya ku mukazi ow’olubuto
Darius Orikiriza ali ku ddaala lya Nurse kigambibwa nti yakakkanye omukazi eyali agenze ku ddwaliro lya Mpalo okumukebera mu scan, n’amukaka omukwano.
Orikiriza takkiriziddwa kubaako kyanyega ku musango guno olw’ensonga nti gwannaggomola guwulirwa kkooti enkulu.
Oludda oluwaabi lutegeezezza kkooti nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso, ekiwalirizza omulamuzi Derrick Byamugisha okusindika Orikiriza mu kkomera ly’e Ndorwa okutuusa omwezi ogujja ogwa September 2023.
Kigambibwa nti nga 21st August 2023,Orikiriza yakaka akaboozi omukyala ow’olubuto lwa myezi 7 bweyali agenze okumukebera mu scan.
Oluvannyuma omukyala yaddukira ku police e Kabale eyasitukiramu n’ekwata omusawo ono.
Omusango guno singa omusawo gumukka mu vvi, ayolekedde okusibwa amayisa.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam