Bazzukulu ba Kisolo abeddira Eŋŋonge basitukidde mu Ngabo y`omwaka gw’ebika by’Abaganda ey’omulundi ogwa 49, bawangudde Bazzukula ba Kayiira abeddira Embogo ku goolo 2 – 0.
Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Sseggwanga Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye n’aggalawo empaka z’omwaka guno 2023 ez’omupiira ogw’ebigere n’ezokubaka eziwangudde bazzukulu ba Kasujja ab’engeye.
Ssaabasajja Kabaka mu kutuuka ku kisaawe e Wankulukuku atambudde n`omulangira Ssemakookiro Richard, era ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, omumyukawe owokubiri era Omuwaniika w`Obwakaba Owek Robert Waggwa Nsibirwa.
Bajjaja abattaka ab`obusolya nga bakulembeddwamu Omukubiriiza w`olukiko lw’abataka Omuttaka Augustine Kizito mutumba, ba minister b`Obwakabaka, bakulembeddwamu minister webyemizanyo, abavubuka n’ebitone Owek Robert Sserwanga, abakulu b’ebitongole by`Obwakabaka, abaami ba masaza, abavujirizi, Olukiiko oluteesiteesi olwe mpaka zino, nabalala.
Bannabyabufuzi naddala bannakibiina kya NUP babaddeyo mu bingi, era president wabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu naye nga muzzukulu wa Kayiira yabakunze mu bungi.
Mu mupiira gw’abawala ogw`okubaka, Bazzukulu ba Kasujja abedira Engeye beddiiza Engabo eno omulundi ogw`okubiri ogw`omudiringanwa, bawangudde Bazukulu ba Mbazira abedira Ennyange ku mugate gwabugoba 37 – 36.
Mu kusooka mu mupiira ogw`okuwakanira ekifo eky`okusatu, mu mupiira ogw`okubaka ogwa bawala bazzukulu ba gabunga abeddira emmamba Namakaka bakubye bazzukulu ba Mugema abedira Enkima ku bugoba 42 – 37.
Mu mupiira ogw`okusamba ogw’abalenzi, Bazzukulu ba Nakirembeka abeddira Omutima Omusagi batimpudde bazzukulu ba Kalibbala ab`Enseneene ku goolo 5 – 4 mu kakodyo k`okusimuligana penati oluvanyuma lw`okugwa amaliri ku goolo 3 – 3.
Emma Wasswa Captain wa Team y’e kika kye ŋŋonge abasitukidde mungabo z`omupiira gwabasajja ez’omwaka guno, yenna nga abuganye esanyu yebaziiza nnyo omutonzi abasobozeseza okutuuka ku buwanguzi
Nalukenge Shifah Captain wa team ye Ngeye ey`okubaka eyabawala abakasitukira mungabo omulundi ogw`okubiri ogw`omudiriŋŋanwa, yebazizza abazannyi ba tiimu ye abakoledde ewamu okutuuka ku buwanguzi.#