Kooti enkulu eragidde eddwaliro lya Rosewell Women and Children’s Hospital okuwaayo omwana ow’emyezi 5 gweribadde lyasigaza, ku bigambibwa nti lyali limusigaza ng’omusingo olw’abazaddebe okulemererwa okusasula ebisale by’eddwaliro bya bukadde bwa shs 4.4m.
Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi Esta Nambayo.
Bazadde b’omwana Soloome ne Bridges Alinda bekubira enduulu mu kooti, oluvannyuma lw’eddwaliro okusigaza omwana wabwe.
Munnamateeka w’eddwaliro Ssemakula Mukiibi ategeezezza kooti nti baatuukirira ekitongole kya Kampala Capital City Authority ofiisi ekola ku nsonga z’abaana, oluvannyuma lw’abazadde be okumubalekera, KCCA nebalagira bamutwale mu maka agalabirira amabujje aga Loving Hearts.
Abazadde bagamba nti bayise mu kusoomozebwa kungi okuva lwebaalwaza omwana ebisale by’eddwaliro nebirinnya okutuuka ku bukadde bwa shs 4.4m, wabula eddwaliro nerigaana okubakkiriza okusasula mu bitundutundu.
Oluvannyuma lw’okugaayagaaya mu nsonga, bannamateeka benjuuyi zombi bakkiriziganyizza abazadde basasule akakadde ka shs kalamba, omwana wabwe bamutwale.
Omulamuzi Esta Nambayo alagidde eddwaliro okuleeta omwana mu bwangu, okuva mu maka ga Loving Hearts gyebaali baamuteresa.
Report by: Mpagi Recoboam