Ministry y’ebyenjigiriza mu Uganda etaddewo olw nga 31 August ,2023 nga nsalesale w’okuwandiisa abayizi abagenda okuweebwa sikaala okusoma obusawo mu ggwanga lya Cuba.
Sikaala zino ziweebwa bayizi abakatuula ebibuuzo byabwe ebya S.6 mu myaka 2 egiyise.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa ministry of education and sports, abayizi abanaaba bayiseemu bakusomera emyaka 7, kuliko n’okuyiga ennimi.
Abasaba okufuna sikaala bayita ku mutimbagano www.education.go.ug .#