Wabaluseewo obutakkaanya obwamaanyi wakati w’akukira ekika Kya Paten mu district ye Pakwach , entabwe eva ku bigambibwa nti abakulu ku district eyo beekobaana nebagoba abantu abasukka mu 700 ku ttaka,okusobozesa government okulimirako Omuceere.
Abakulu mu kika Kya Paten nga bakulembeddwamu akikulira Omutaka Santonino Onen David wamu n’abakadde ku lukiiko lw’Ekika ,baluniriza district ye Pakwach okweddiza ettaka eriwezaako yiika 902 nebagobako bannyiniryo awatali kubaliyira mu mazima.
Omu ku bakadde abatuula ku lukiiko lw’Ekika ki Paten Opar Martin owemyaaka 89, asinzidde ku kyalo Adiri nategeeza nti oluvannyuma lw’Abantu okugobwa ku ttaka lyaabwe nebatafuna bwenkanya ,basazeewo obutawagira kulima Muceere, naasaba government ebalekere ettaka lyabwe basigale nga balima muwogo gwebaamanyiira.
Sylvia Anican omu ku bakyala abagamba nti batuluginyiziddwa ku ttaka eryogerwako, ategeeza CBS nti ennimiro z’Abantu zonooneddwa abakuuma ddembe abassibwa ku ttaka lino, ekiviiriddeko abatuuze okufiirwa emmere eyookulya n’Okutunda.
Charles Ringtho nga naye mubaka ku lukiiko lw’Ekika ki Paten,agambye nti projet y’Omuceere eno esaanye ekome ku ttaka ly’Ekika ki Ayabu ekiri mu gombolola ye Wadira ,nti eyo abaayo bonna baaliyirirwa, era naasaba ministry y’Amazzi n’Obutondebwensi wamu ne African Development Bank eyassa ssente mu project eno erambike government ku byakkaanyizibwako.
Wabula Omubaka wa president mu district ye Pakwach Paul Eseru ategeezezza nti abantu bonna a bali ku ttaka okugenda okulimwa omuceere baasasulwa dda, naalabula abatuuze obutagezaako kukola ffujjo ku ttaka eryo.
Ssentebe wa district ye Pakwach Robert Steen Omito by’amanyi ku ttaka lino tebikwataganye na byamubaka wa president, agambye nti waliwo abantu abatanaliyirirwa, era abanaaliyirirwa bagenda kubeera balondemu.#
Bisakiddwa: Kato Denis