Kooti y’amagye eyimbudde munnamagye Gen.Kale Kaihura, oluvannyuma lwa government okuggya enta mu misango egibadde gimuvunaanibwa okumala emyaka 5.
Kaihura abadde avunaanibwa emisango omuli; okulemererwa okukuuma eby’okulwanyisa, okuyambako okuzaayo abanoonyi b’obubudamu abaali badduse e Rwanda.
Emirala mwalimu okulemererwa okulabirira eby’okulwanyisa ebyali mu mikono gy’abantu abenjawulo nebikozesebwa mu ngeri y’obulagajjavu, omwali n’emmundu eyali yaweebwa eyali ssentebe w’ekibiina kya Bodaboda mu Lubaga ekya 2010 Abdallah Kitatta.
Emisango kiteeberezebwa nti abadde yagyizza wakati w’omwaka 2010-2018.
Abawaabi ba kooti y’amagye okuli Left.Col.Rafael Mugisha ne Private Regina Nanzara bebaleese ekiwandiiko mu kooti ebadde ekibirizibwa Brig.Gen.Robert Freeman Ssabbiiti Mugabe, ekiraga nti Kaihura agiddwako emisango.
Bino webijidde nga wasigaddeyo olunaku lumu okutuuka ku mikolo gy’okuwummuza Gen.Kale Kaihura okuva mu magye ne banne abalala.
Kaihura yakwatibwa mu August 2018 okuva mu makage e Kashagama mu district ye Lyantonde, nga yakawummuzibwa ku ky’obuduumizi bwa police ya Uganda,n’atandika okuwerennemba n’emisango okutuusa lwegyimugyiddwako.#