Ekitongole ekiramuzi kyaddaaki kifunye omwogezi wakyo omuggya James Ereemye Mawanda, oluvannyuma lwomwezi mulamba nga tekirina akyogerera.
Sabalamuzi Alfonse Owinnyi Dollo alonze omulamuzi James Ereemye Mawanda okwogerera ekitongole kino, azze mu bigere bya Jameson Karemani eyasuumusiddwa n’afuuka omulamuzi wa kkooti enkulu.
Omulamuzi Mawanda mu kiseera kino abadde akola nga muwandiisi wa kkooti era obwo obuvunanyizibwa wakusigala nga nabwo.
Omulamuzi Mawanda amaze emyaka 27 mu kitongole ekiramuzi nga era ono y’agenda asuumusibwa okuva ku madaala okuli; Magistrate grade 3, 2, ne 1.
Omulamuzi Mawanda era yalinyisibwa eddaala okutuusa ku akulira kkooti ento muyite chief magistrate, nga mu kiseera kino akola nga muwandiisi wa kkooti.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam