Abamu ku bakozi ba radio CBS bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo okumwagaliza olunaku lw'amazaalibwa ge olulungi. Bakulembeddwamu akulira ebiweerezebwa ku mpewo za CBS FM Hajji Abby Mukiibi, omumyuka we atwala 89.2...
Ttiimu ya CBS ey'okubiri ey'abavubuka abomulembe omutebi, esitukidde mu mpaka z'omupiira ez'omwaka 2025, ezategekeddwa ekibiina ekitaba bannamawulire mu ggwanga ekya Uganda Journalists Association (UJA) ez’omulundi ogw'okusatu, ekubye KBS TV ggoolo...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza Bboodi ya Radio CBS FM, Ssaabasajja gyeyasiima n’alonda eweereze emyaka esatu. Katikkiro ba mmemba ba Bboodi abakuutidde okukola n’amaanyi okukuumira Radio ya Kabaka...
Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu amatendo egikoleddwa Bboodi ya Radio ya Kabaka CBS, mu myaka 6 egiyise. Katikkiro Mayiga asisinkanye ba Mmeemba ba Bboodi ya CBS mu Butikkiro, okubeebaza obumalirivu,...
Bannamukisa babiri bakwasiddwa obukadde bwa shs 7 buli omu, zebaawangula mu kazannyo ka Sabula Bingo akaweerezebaa mu ppulogulaamu za CBS ez'enjawulo. Ababiri bano baawangula mu biseera by'okujaguza Amazaalibwa ga Ssaabasajja...
Ssenkulu wa CBS radio Omukungu Michael Kawooya Mwebe awadde amagezi eri abakozi ba CBS okwenyigira mu kulima emmwanyi n'okulunda, okwongera ku nnyingiza yabwe n'okwekulaakulanya. Abakozi balambudde abamu ku balimi n'abalunzi...