Obunkenke bweyongedde mu parliament ya Uganda ababaka batula bufoofofo oluvanyuma lw’abamu ku babaka okukwatibwa ekitongole kyabambega ekya CID kubyekuusa ku nguzi.
Ekitongole kya bambega ekya CID e Kibuli kyayiise abamu kubangu ba government n’ababaka ba Parliament okubaako byebanyonyola kubyekuusa ku bulyake omugambibwa nti bukolebwa mu bitongole byebaweerezamu, era ababaka 3 kigambibwa nti basuze mukaddukulu.
Ababaka abakunyiziddwa kuliko omubaka omukyala owa Lwengo Cissy Dionizia Namujju, Yusuf Mutembuli owa Bunyole East ne Paul Akamba owa Busiki County.
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa bweyali ayogerako eri eggwanga mu kwogera kwe okutoongole, yategeeza nga bwalina obujulizi nti abamu ku bakozi ba government mu ministry y’e byensimbi ne Parliament nti bakola obukundi mwebayita okubba ssente y’omuwi w’omusolo.
Ensonda zitubulidde nti ababaka n’abakungu ba government abaweerako baaweereddwa ebiwandiiko ebibayita ku kitebe kya bambega e Kibuli, benyonyoleko ku bigambibwa nti benyigira mu bulyake n’obukenuzi.
Bayitiddwa ku biragiro bya kulira ekitongole kya bambega kino AIGP Tom Magambo .
Kigambibwa nti ababaka abaasuze mukaduukulu bakunyiziddwa esaawa eziwerako nebalemererwa okukakasa ekitongole kyabambega ku bibuuzo ebyababuziddwa kwekubasuza mukaduukulu.
Omumyuka wa ssentebe wa NRM mu Buganda Godfrey Kiwanda Suubi agamba nti olutalo kubulyake n’enguzi lulina okukwatibwa n’amaanyi, nti kubanga ebadde eviiriddeko bannauganda okuggya obwesige mu kibiina, n’asaba president Museven okulwongeramu amaanyi.
Omubaka wa Kira Municipal Ibrahim Ssemujuu Nganda agamba nti talina subbi nti ekyokwata ababaka kirina kyekinakyusa ku bulyake obuli mu Uganda.#