Government esabiddwa okusaawo amakubo ag’enjawulo agakwatizaako ebibiina by’obwegassi ng’ebissaamu ensimbi, nti kubanga biyamba abantu bangi okukulaakulana.
Agambye nti mu nteekateeka eno government esobola okussaawo olutimba olw’omuziinzi,olugatta ebibiina byonna eby’obwegassi okusikiriza bamusiga nsimbi abava ebweru wa Uganda okubyesiga n’ebisigamu ensimbi.
Okusaba kuno kukoleddwa Ssentebbe w’olukiiko olukulembeze olwa Kyadondo CBS PEWOSA Sacco era nga ye Ssenkulu wa Radio CBS Omukungu Michael Kawooya Mwebe.
Abadde mu Ttabamiruka w’abegassi aba Kyadondo CBS Pewosa Sacco ow’omulundi ogwo 4, ayindidde ku Mengo Teachers’ Hall e Lubaga.
Yetabiddwamu ne minister wa Microfinance n’ebibiina by’obwegassi mu government eyawakati Hon Kyeyune Haruna Kasolo abadde omugenyi omukulu, ne minister wa Buganda ow’ebyobulimi n’obwegassi Owek. Hajji Amis Kakomo.
Omukungu Kawooya agamba nti wetaagawo ennambika y’amateeka ng’effaayo ku munnansi okwekulakulanya n’okukulakulanya eggwanga.
Mungeri yemu asabye gavumenti okukwasizako ebibiina byobwegasi ewatali kuteekawo bukwakkulizo bw’amaanyi .
Minister wa Microfinance n’obwegassi mu ggwanga Hon Kyeyune Haruna bwabadde aggalawo Tabamiruka ono agamba nti wakyaliwo obwetavu mu bannauganda okutereka ssente, era asabye abakulu okwongera okubangula abantu kubirungi ebiri mu kuteereka basobole okwewola ku magoba amatono.
Minister w’obwegassi mu Bwakabaka bwa Buganda Owek Haji Amis Kakomo akuutidde baanabibiina by’obwegassi okuteeka sente mu bintu ebibakulakulanya kibayambe okuzaayo ssente mu budde .
Ssenkulu wa Kyadondo CBS PEWOSA Ssaco Barbra Nansubuga agamba nti bafuna okusoomozebwa okwa banakibiina okwewola ssente nebatazizza mu biseera ebiragaane ekiremesa abalala okwewola .
Oluvanyuma lwa Tabamiruka oLukiko luyiziza ebiteso ebyenjawulo omuli Okukulisaayo Ssabasajja Kabaka yonna gy’abadde ajanjabirwa, Okugyaguliza awamu ne Ssabasajja Kabaka emikolo gy’okujjukira amatikkira aga 31., ,Ebibiina okusondanga emitwalo 10 okuwagira emirimu gy’o bwakabaka ,Okuyingiza ba memba abapya mu Sacco abasuka mu 1600,Okuyisa embalirira y’omwaka 2024 n’ebirala.
Bisakiddwa: Nakato Jenifer