President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, alonze munna byanjigiriza Alex Kakooza okugira ng’abeera omuteesitesi omukulu mu ministry y’ebyobusuubuzi, ekifo ekibaddemu Geralidine Ssali.
Geralidine Ssali, mukiseera kino ali ku alimanda mu kkomera e Luzira olwemisango egyekuusa ku bulyake.
Kigambibwa nti Geralidine Ssali aliko ensimbi ezisoba mu bukadde 900, zeyakwata naawa ekibiina kimu.
Kigambibwa nti PS Geralidine Ssali era nti abadde akozesa bubi wofiisi, wabula emisango gino gyonna yagyegaana.
Munnabyanjigiriza Alex Kakooza alondeddwa okugira ng’akuuma ministry y’ebyobusuubuzi, era yaliko omuteesitesi omukulu mu ministry yebyenjigiriza kyokka abadde yawummuzibwa.
Bisakiddwa: Ddungu Davis