Emizannyo gy’amawanga egya Olympics 2024 gitandika leero nga 26 July,2024 mu butongole mu kibuga Paris ekya Bufalansa.
Emizannyo gino gigenda kuzanyibwa okutuuka nga 11 August,2024.
Amawanga 206 okuli ne Uganda gegagenda okuzeetabamu.
Abazannyi omutwalo 10,500 be bagenda okwetaba mu mizannyo egyenjawulo egiwera 32, nga gino gigenda kwawulwamu emizannyo 329.
Uganda egenda kukiikirirwa ttiimu y’abazannyi 25 okuli abaddusi 21, abawuzi 2, owe gaali omu n’omukubi w’enkasi omu.
Mu mpaka za Olympics ezasembayo mu 2020 e Tokyo Japan, Uganda yawangula emidaali gya zaabu 2, ogwa feeza 1 n’ogwekikomo gumu.
Joshua Cheptegei yawangula omudaali gwa zaabu mu misinde gya mita 5000 ne Stella Chesanga n’awangula omudaali gwa zaabu mu misinde gya mita 3000 eza steeplechase.
Josehu Cheptegei era yawangula omudaali gw’ekikomo mu misinde gya mita omutwalo 1 ne Jacob Kiplimo n’awangula omudaali gw’ekikomo mu misinde gya mita omutwalo 1.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe