Ekibiina kya Nationala Unity Platform kigguddewo ettendekero ly’eby’obukulembeze ewaali wofiisi zabwe e Kamwokya.
Omukulembeze w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi ssentamu bw’abadde aggulawo ettendekero lino awadde abavubuka amagezi okwongera okwesimbawo mu bifo by’obukulembeze bwebaba bakukyuusa nsi yabwe.
Agambye nti ettendekero lino ligenderera okutendeka abakulembeze abalimu ensa, amazima n’obuntu bulamu,ebyenfuna saako eddembe ly’obuntu.
Kyagulanyi ssentamu asinzidde Kamwokya mu kuggulawo ebganguliro ly’ekibiina kino ery’okuzimba abakulembeze nategeeza nti akaseera katuuse abavubuka batandike okwenyigira mu bukulembeze
agambye nti ekigendererwa ekibaguzaawo ebangulira lino kwekwongera okwojiwaza obwongo bw’abavubuka,bamanye obuvunanyizibwa bwabwe mu kuleeta enkyukakyuka mu ggwanga.
Ssabawandiisi w’ekibiina kino ekya NUP David Lewis Rubongoya asinzidde ku mukolo guno nategeeza nti ebibiina bingi okwetoloola ensi yonna bizimba abakulembeze babyo, era byebalabiddeko okuzimba ebbanguliro lino.